Abayigirizwa ba Yesu Abaasooka
35 Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36 Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, "Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda."
37 Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu. 38 Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, "Mwagala ki?"
Ne bamuddamu nti, "Labbi" (ekitegeeza nti: "Omuyigiriza"), "obeera wa?"
39 N’abaddamu nti, "Mujje mulabeyo."
Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi.
40 Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero. 41 Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, "Tulabye Masiya" (amakulu nti Kristo). 42 Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.
Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, "Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa," amakulu nti Peetero.
Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri
43 Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, "Ngoberera."
44 Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, "Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako."
46 Nassanayiri n’amuddamu nti, "Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?"
Firipo kwe kumuddamu nti, "Jjangu weerabireko."
47 Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, "Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa."
48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, "Ontegedde otya?"
Yesu n’amugamba nti, "Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini."
49 Nassanayiri n’amuddamu nti, "Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!"
50 Awo Yesu n’amugamba nti, "Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu."