Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 11:21-26,43,44

21 Awo Maliza n’agamba Yesu nti, "Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa."

23 Yesu n’agamba Maliza nti, "Mwannyoko ajja kuzuukira."

24 Maliza n’amuddamu nti, "Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero."

25 Yesu n’amugamba nti, "Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26 na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?"

43 Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, "Laazaalo fuluma." 44 Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge.

Yesu n’abagamba nti, "Mumusumulule atambule."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.