Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 11

21 Awo Maliza n’agamba Yesu nti, "Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa."

23 Yesu n’agamba Maliza nti, "Mwannyoko ajja kuzuukira."

24 Maliza n’amuddamu nti, "Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero."

25 Yesu n’amugamba nti, "Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26 na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?"

27 Maliza n’amugamba nti, "Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também