Olukwe olw’Okutta Laazaalo
9 Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10 Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 11 kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.
17 Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 18 Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola.