Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 13:18-30

18 Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ 19 Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize. 20 Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma."

21 Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, "Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe."

22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 23 Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24 Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, "Mutubuulize gw’ayogerako."

25 Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, "Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?" 26 Yesu n’addamu nti, "Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo." Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 27 Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.

Awo Yesu n’amugamba nti, "Ky’okola kikole mangu!" 28 Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 29 Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 30 Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.