Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 13:3-8,12-15

3 Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, 4 n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, 5 n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

6 Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, "Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?"

7 Yesu n’amuddamu nti, "Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera."

8 Peetero n’amuddamu nti, "Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna." Yesu n’amugamba nti, "Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange."

12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, "Kye mbakoze mukitegedde? 13 Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14 Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15 Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.