13 Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga."
Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu
15 "Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 16 nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,