7 Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 "Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe.