12 Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13 Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.18:13 mu biro ebyo, waaliwo ekibiina ekitono ekya Bakabona Abasinga Obukulu nga bakulemberwa Ana ne Kayaafa, abaafuganga Yerusaalemi.
Kabona Asinga Obukulu Abuuza Yesu Ebibuuzo
19 Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.
24 Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.