10 Piraato n’amugamba nti, "Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?"
11 Yesu n’amuddamu nti, "Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga."