Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 19:12-16

12 Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, "Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali." 13 Bwe baayogera batyo Piraato n’azza Yesu ebweru gye bali, n’atuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14 Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.

Piraato n’agamba Abayudaaya nti, "Kabaka wammwe wuuno!"

15 Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, "Mukomerere, mukomerere!"

Piraato n’ababuuza nti, "Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?"

Bakabona abakulu ne baddamu nti, "Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali."

16 Piraato n’abawa Yesu okumukomerera.

Awo ne batwala Yesu;

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.