14 Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.
Piraato n’agamba Abayudaaya nti, "Kabaka wammwe wuuno!"
29 Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu.
33 Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu. 36 Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: "Talimenyebwa gumba na limu."