23 Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, 24 abaserikale ne bagambagana nti, "Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala."
Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:
"Baagabana ebyambalo byange,
n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu."
Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.
25 Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. 26 Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, "Maama, laba omwana wo." 27 Ate n’agamba omuyigirizwa nti, "Laba maama wo." Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.