4 Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, "Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango." 5 Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, "Mulabe omuntu oyo!"
6 Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, "Mukomerere, mukomerere!"
Piraato n’abagamba nti, "Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango."