Yesu Alongoosa Yeekaalu
13 Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. 14 N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi. 15 Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe. 16 N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, "Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale2:16 Yeekaalu ya Mukama yalina ekifo Bannaggwanga we baakuŋŋaaniranga ne basinza, nga bazze mu Yeekaalu. Kyokka bakabona baali bakifuusizaamu akatale abaawangayo Ssaddaaka we baggyanga eby’okuwaayo ku lunaku lwa Ssabbiiti.." 17 Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, "Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya."
18 Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, "Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?"
19 Yesu kwe kuddamu nti, "Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu."
20 Ne bamuddamu nti, "Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?" 21 Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe. 22 Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.