6 Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7 Yesu n’agamba abaweereza nti, "Amasuwa mugajjuze amazzi." Ne bagajjuza okutuuka ku migo. 8 Awo n’abagamba nti, "Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi."
Ne basena ne bamutwalira.