Okuzuukira kwa Yesu
1 Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana.
6 Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo. 7 N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali.
Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene
11 Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba,
14 Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.
15 Yesu n’amubuuza nti, "Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?"
Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, "Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo."
16 Yesu n’amugamba nti, "Maliyamu!"
Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, "Labooni," ekitegeeza nti, "Omuyigiriza."
18 Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.