29 Yesu n’amugamba nti, "Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye."
30 Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. 31 Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.