Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 21:9,15-19

9 Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.

Yesu Azzaamu Peetero Amaanyi

15 Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, "Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?"

Peetero n’addamu nti, "Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo."

Yesu n’amugamba nti, "Kale liisanga abaana b’endiga zange."

16 Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, "Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?"

Peetero n’addamu nti, "Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala." Yesu n’amugamba nti, "Kale lundanga endiga zange."

17 Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, "Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?"

Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, "Onjagala?" Peetero n’amuddamu nti, "Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala."

Yesu n’amugamba nti, "Kale liisanga endiga zange. 18 Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala." 19 Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, "Ngoberera."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.