Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 3:1-10

Yesu ne Nikodemo

1 Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, 2 n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, "Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye."

3 Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda."

4 Nikodemo n’amuddamu nti, "Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?"

5 Yesu kwe kumuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 6 Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. 7 Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. 8 Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo."

9 Nikodemo n’amubuuza nti, "Ebyo biyinza bitya okubaawo?"

10 Yesu n’amuddamu nti, "Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino?

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.