Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 4:7,9,10,16-18,26,29

7 Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, "Mpa ku mazzi nnyweko." 9 Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, "Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?" Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 Yesu n’amuddamu nti, "Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu."

16 Yesu n’amugamba nti, "Genda oyite balo, okomewo."

17 Omukazi n’amuddamu nti, "Sirina baze!"

Yesu n’amugamba nti, "Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima."

26 Yesu n’amugamba nti, "Nze nzuuno ayogera naawe."

29 "Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.