7 Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, "Mpa ku mazzi nnyweko." 9 Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, "Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?" Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya.
26 Yesu n’amugamba nti, "Nze nzuuno ayogera naawe."
27 Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako.
Abasamaliya Bangi Bakkiriza
39 Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, "Antegeezezza buli kye nnali nkoze!"