Yesu Awonyeza ku Kidiba
1 Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. 2 Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. 3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. 4 Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. 5 Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. 6 Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, "Oyagala okuwonyezebwa?"
7 Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, "Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda."
8 Yesu n’amugamba nti, "Situka ozingeko omukeeka gwo otambule." 9 Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.
Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.