Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano
1 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. 2 Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. 3 Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. 4 Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.
5 Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, "Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?" 6 Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.
7 Firipo n’amuddamu nti, "Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono."
8 Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 "Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?"
10 Yesu n’abagamba nti, "Mutuuze abantu." Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11 Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
12 Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa." 13 Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14 Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, "Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!"