35 Yesu n’abaddamu nti, "Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
48 Nze mmere ey’obulamu. 51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange."
53 Yesu n’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. 56 Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye.
Abayigirizwa Abamu Baleka Yesu
60 Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, "Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?"
66 Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.