4 Ne bagamba Yesu nti, "Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda. 5 Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?" 6 Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.
Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 7 Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, "Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja." 8 N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 9 Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina. 10 Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, "Abakuwawaabira baluwa?"
11 Omukazi n’amuddamu nti, "Mukama wange, tewali n’omu."
Yesu n’amugamba nti, "Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona."