14 "Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda. 15 Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda."
16 Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, "Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala.
23 N’abagamba nti, "Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri." 24 Abantu ne bagamba Yoswa nti, "Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga."