Pular para o conteúdo
Publicidade

Yoswa 24:2-13

2 Yoswa n’agamba abantu bonna nti, "Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala. 3 Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde. 4 Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.

5 " ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo. 6 Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, n’abeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu. 7 Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.

8 " ‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe. 9 Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire; 10 naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.

11 " ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe. 12 Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. 13 Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.