Samusooni Awasa
1 Awo Samusooni n’aserengeta e Timuna14:1 Timuna kyali kibuga mu Ddaani (Yos 19:43). Abafirisuuti baateranga okukibeeramu ng’Abayisirayiri tebannakiwambira ddala n’alaba omukazi mu bawala ab’Abafirisuuti. 2 N’addayo eka, n’ategeeza kitaawe ne nnyina ng’agamba nti, "Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano."
3 Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, "Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?"
Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, "Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye." 4 Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri.