3 Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, "Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?"
Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, "Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye."