18 Awo Derira bwe yalaba ng’amutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, n’atumira abakulembeze b’Abafirisuuti ng’agamba nti, "Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna." Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu. 19 N’amwebasa ku maviivi ge, n’ayita omusajja n’amumwa emivumbo omusanvu egyali ku mutwe gwe, n’atandika okujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako. 20 N’amukoowoola ng’agamba nti, "Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko." N’agolokoka okuva mu tulo ng’agamba nti, "Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo." Naye teyamanya nga Mukama Katonda amulese.
21 Awo Abafirisuuti ne bakwata Samusooni, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuserengesa e Gaza nga musibe mu njegere ez’ekikomo, ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba omuseerebwa obuwunga. 22 Kyokka bwe yamala okumwebwa, enviiri ze ne zitandika okumera.