23 Awo abakulembeze b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni16:23 Dagoni ye yali lubaale w’Abafirisuuti omukulu. Erinnya Dagoni mu Lwebbulaniya litegeeza empeke. Noolwekyo yali lubaale w’ebimera. Lubaale oyo yakolebwa mu kifaananyi, ekitundu nga kya muntu n’ekitundu ekirala nga kya kyannyanja., nga bwe basanyuka. Ne boogera nti, "Lubaale waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe." 24 Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti,
"Lubaale waffe agabudde omulabe waffe
mu mukono gwaffe,
oyo eyazikiriza ensi yaffe,
n’atta bangi ku ffe."
25 Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, "Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu."
Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi. 26 Awo Samusooni n’agamba omuweereza eyali amukutte ku mukono nti, "Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde essabo, nsobole okuzeesigama." 27 Mu ssabo mwalimu ekibiina kinene eky’abasajja n’abakazi nga mulimu n’abakulembeze bonna ab’Abafirisuuti. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abantu ng’enkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng’abasanyusaamu.