4 Awo oluvannyuma lw’ebyo n’aganza omukazi mu kiwonvu ky’e Soleki, erinnya lye Derira. 5 Abakulembeze b’Abafirisuuti16:5 Abafirisuuti baabeeranga mu bibuga bitaano, buli kimu nga kirina omukulembeze waakyo. ne bagenda gy’ali ne bamugamba nti, "Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi16:5 ze kilo nga kkumi na ssatu."
Publicidade