Pular para o conteúdo
Publicidade

Ekyabalamuzi 16:6-14

6 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, "Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era n’ekiyinza okukusiba okukujeeza." 7 Samusooni n’amugamba nti, "Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ng’omuntu omulala yenna."

8 Abakulembeze b’Abafirisuuti ne baleetera omukazi enkolokolo musanvu embisi ezitakaze, n’azimusibya. 9 Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi n’akoowoola Samusooni ng’agamba nti, "Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko." N’akutula enkolokolo, ng’omuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko y’amaanyi ge n’etazuulibwa.

10 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, "Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba." 11 N’amugamba nti, "Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nnaanafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna." 12 Awo Derira n’addira emiguwa emiggya, n’amusiba, nga mu kisenge mulimu abasajja abeekwese. N’alyoka amukoowoola ng’agamba nti, "Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko." N’agyekutulako ku mikono ng’ewuzi.

13 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, "Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba." N’amugamba nti, "Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna."

N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye, 14 n’abinyweza n’olubambo. N’amukoowoola ng’agamba nti, "Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko." N’agolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw’omuti ogulukirwako n’engoye ezirukiddwa.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.