13 Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, "Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika." 14 Munne n’amuddamu nti, "Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna."
15 Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, "Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani."