34 Awo Maliyamu n’abuuza malayika nti, "Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja."
35 Malayika n’amuddamu nti, "Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda. 36 Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe. 37 Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda."
38 Maliyamu n’addamu nti, "Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye." Malayika n’ava w’ali, n’agenda.