Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 1

59 Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 Naye Erisabesi n’abagamba nti, "Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana."

61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, "Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo."

62 Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, "Erinnya lye ye Yokaana!" Bonna ne beewuunya nnyo! 64 Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda.

Veja também