Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 1

Oluyimba lwa Zaakaliya

67 Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,

68 "Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,

kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.

69 Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,

mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.

70 Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,

71 Okulokolebwa mu balabe baffe,

n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,

72 okulaga bajjajjaffe ekisa,

n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,

73 ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,

74 okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,

tulyoke tuweereze mu maaso ge,

75 mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

76 "Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;

kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.

77 Okumanyisa abantu be obulokozi,

obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.

78 Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.

Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,

79 okwakira abo abatudde mu kizikiza

ne mu kisiikirize eky’okufa,

okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe."

Veja também