40 Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, "Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?"
41 Naye Mukama waffe n’amuddamu nti, "Maliza, Maliza, ebintu ebikutawaanya bingi, 42 naye waliwo ekintu kimu kyokka ekyetaagibwa, Maliyamu alonze omugabo omulungi ogutagenda kumuggyibwako."