Temweraliikiriranga
22 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala. 23 Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo. 24 Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! 25 Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu? 26 Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?
27 "Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 28 Kale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono! 29 Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. 30 Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. 31 Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
32 "Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka. 33 Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. 34 Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.