Publicidade

Lucas 13

Yesu Awonya Omukazi Omulema ku Ssabbiiti

10 Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, 11 ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. 12 Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, "Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo." 13 N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!

14 Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, "Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!"

15 Mukama waffe n’amuddamu nti, "Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi? 16 Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?"

17 Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-