Publicidade

Lucas 17

Abagenge Kkumi Bawonyezebwa

12 Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako 13 ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, "Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!"

14 Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, "Mugende mweyanjule eri bakabona." Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

15 Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 16 N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

17 Yesu n’agamba nti, "Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18 Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?" 19 Awo Yesu n’amugamba nti, "Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-