3 Mwekuume.
"Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. 4 Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga."
5 Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, "Twongereko okukkiriza."
6 Mukama waffe n’abagamba nti, "Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.