Omukungu Omugagga
18 Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, "Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?"
22 Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, "Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere."
23 Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 24 Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, "Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda."
26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, "Kale ani ayinza okulokolebwa?"
27 Yesu n’addamu nti, "Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda."