Pular para o conteúdo
Publicidade

Lukka 19

Zaakayo Omusolooza w’Omusolo

1 Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. 2 Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. 3 N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. 4 Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.

5 Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, "Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go." 6 Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.

7 Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, "Agenze okukyalira omuntu alina ebibi."

8 Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, "Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena."

9 Yesu n’amugamba nti, "Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 10 Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também