37 Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,
38 "Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!"
"Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!"