Okuzaalibwa kwa Yesu
1 Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. 2 Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli2:2 Obusuuli ye Siriya mu biro bya kaakano. 3 Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
4 Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, 5 yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza.