25 Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,
29 "Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,
ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31 bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.
N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!"