Yesu Asaba ku Lusozi olwa Zeyituuni
39 Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, "Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa." 41 Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 "Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa." 43 Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 N’abagamba nti, "Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa."