Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 22

Peetero Yeegaana Yesu

54 Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, "Omusajja ono yali ne Yesu!"

57 Peetero ne yeegaana nti, "Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi."

58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, "Naawe oli omu ku bo." Peetero ne yeegaana nti, "Nedda, ssebo, si bwe kiri." 59 Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, "Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya." 60 Peetero n’addamu nti, "Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!" Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, "Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu." 62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!

Veja também